Okutambula Kwange Nga Omusajja Omuganda
Okutambula Kwange Nga Omusajja Omuganda
Amannya Ssekamanje Edward.
Kitange ye Ssekyonda Fredrick agalamidde mu Luyobyo Bulemeezi.
Jajjange ye Kamya Lubega Christopher naye agalamidde mu Luyobyo Bulemeezi.
Ndi muzzukulu wa Sserwanga Yofesi agalamidde mu Luyobyo Bulemeezi.
Ndi muzzukulu wa Basenero Matayo agalamidde e Baale Bulemeezi
Ndi muzzukulu wa Ssekikubo Tema Omukulu agalamidde e Nandwagudde Busujju.
Ndi muzzukulu wa Nyuumba enekuzza e Naddangira Busiro.
Ndi muzzukulu wa Mutaawe Ssekyonda e Nandwagudde Busujju.
Nedira Ngabi, akabbiro Kayiiyi
Omubala gwange guvuga nti: Kakku, Tadde, Batte;
Amakulu nti, Ayi Ssabasajja abakujeemera bakube obamenyemenye ffe abengabi abakyondwa Tunaabayunga.
Nva mu nyuumba ya Ssekyonda Fredrick mu Luyobyo Bulemeezi.
Nva mu Lugya lwa Kamya Lubega Christopher mu Luyobyo Bulemeezi.
Nva mu Lunyiriri lwa Basenero Matayo e Baale Bulemeezi.
Nva mu mutuba gwa ssekikubo Tema Omukulu Nandwagudde.
Nva mu Siga lya Nyuumba e Naddangira Busiro.
Nsibuka mu Kasolya Ka Mutaawe Ssekyonda e Nandwagudde Busujju Omuluka Ssabaddu Kanyanya e Gombolola Ssabaddu Malangala, Mu lulyo lwa Bwoya Ssensolo.
****Oluvanyuma lwebyo byonna kananye n’oludda lwa Maama wange********
Maama ye Nantale Grace.
Jaajjange ye Kateregga George William e Katooke Wamala Kyaddondo.
Ndi muzzulu wa Eliphaz Ntunzi Baaferawala agalamidde e Sasira Nakasongola Bulemeezi
Ku ludda olwo nsibuka mu Kasolya ka Namuguzi Kateregga e Lwadda Kyadondo.
Ndi Muganda dala.
Ssabasajja Kabaka awangaale.
JESUS CHRIST IS THE LORD
CLICK THIS LINK TO EXPERIENCE THE FULLNESS OF GOD: https://watch.tbn.tv/live-channels
SEE ALSO DAYSTAR TELEVISION NETWORK: https://www.daystar.com/watch/live-stream/