Embuga ye Ssaza esangibwa mu Ggulu emukono. Era lye Ssaza lyoka erisangibwamu Engoma entamivu esangibwa e'Nabitimpa.
Kyaggwe etude ku mabendobendo anna(4). Ssababendobendo yemuwi wa magezi asokeerwako mussaza. Era mukiseera kino ye Mukungu Muzanganda. Songa Kyaggwe lye Ssaza lyoka eririna Ssababendobendo.
Essaza lino lirina amagombolol;a kumina’ana(14).
Amabendobendo gegano agalambikildwa wa manga.
1.Kojja-Lyelivamu Kojja wa kabaka Ssabaganzi ekitegeeza nti bwe bukojja bwa kabaka. Kojja eerimu amagombolola:- Ssabadu Ntejeru , Mutuba 1 Nakisunga, Mutuba VIII Koome
Ebyobulambuzi ebisangibwa mu kojja mulimu TONDA. Ekifo ekyogerwako nga Katonda we yasinzira okutonda Buganda.
2. Bukunja :- Bukunja erimu amagombolola gano wamanga: Ssabagabo Ngogwe, Ssabawali Mubito Buikwe
3. Bukoba:- Bukoba erimu amagombolola gano wamanga: Ebendobendo eririmu:- Mumyuka Nakifuma, Mutuba III kyampisi , Mutuba VI Kasawo
4. Mabira:- Mabira erimu amagombolola gano wamanga: Mutuba V Nyenga , Najjembe Kawolo, Ne Musaale Nagojje
5.Mukono:- Mukono erimu amagombolola gano wamanga: Mutuba IX Goma, Mutuba IV Kawuga