Twebaza Maama Nnaabagereka olw'okutuwa ekisaakaate,era ng'eky'omulundi guno kya kuyindira mu Ssaza lyaffe lino ery'e Kyaggwe. Tulina essuubi nti ekisaakaate kino, kigenda kuyamba nnyo abaana nnadala ababadde baseseetuka mu mpisa. Ekisaakaate 2023 kya kubeera ku Muzza High School era okwewandiisa kugenda kubeera ku ssomero lino erya Muzza High school, oba ku ofiisi za Maama Nnaabagereka.
Harriet Tusiime,akulira essomero lino erya Muzza High School ng'anyonyola olukiiko lwa Ssekiboobo enteekateeka z'ekisaakaate we zituuse, kyenkana 90 ku 100 ziwedde era balindiridde okutandika omusomo.
Abagunjuzi b'ekisaakaate e kya 2023 baakukulemberwaamu Rashid Lukwago n'omuyimbi Joanita Kawalya.
Harriet Tusiime,akulira essomero lya Muzza High School musanyufu olw'ekisaakaate ekigenda okubeera ku ssomero lino.
N'abayizi aba Muzza High School baaniriza ekisaakaate kya Maama Nnaabagereka era baakukyeetabamu.
Abaana abato nga bawaata emmere mu Kisaakaate.
Maama Nnabagereka nga yeetegereza engeri abaana gye bayize okuwaata emmere mu Kisaakaate kya Maama Nnaabagereka.