OBUMU G'E MAANYI
Nga 24/11/2022, Essaza Kyaggwe lyakwasibwa engabo olw'okunywa akendo mu masaza amalala mu mpereza y'emirimu.
Kati Kyaggwe ya kamala emyaka esatu okuli 2014,2017 ne 2022 ng'ewangula,kino nno kyeyoleka lwatu nti engabo eno Kyaggwe ekyagyefuze era nga mmegganyi, ekigiwadde enkizo ey'amaanyi mu masaza amalala gonna.
Mwebale nnyo Bannakyaggwe okukwasiza awamu kale na bwetutyo, nsaba tukuume obumu kubanga geemanyi.
Omwami wa kabaka atwala essaza lino ye Ssekiboobo Elijah Boogere Lubanga Mulembya, ye ng' omuntu yawangula ejjinja olw'okusinga ab'amasaza okukunga abantu ku nteekateeka z'obwakabaka ez'enjawulo mu mwaka 2021.