EKIKA KYEMBOGO
- Ekika kino kisibukira ddala mubutonzi era ngakika kirangira mubusirikale munsi yemwoyo ekiwa obukumu eri buli kitonde munsi ne muggulu era Jaaja Bulamu mweyakira mukiti ekikumi wafukira Jaaja Walumbe nga era yemusirikale omukulu mubutonzi.
-Mubuzale kyabangibwawo Jaaja Kayiira Gajuule eyalunyamizibwa emwoyo gwobutonzi n'obuzaale kubiragiro bwomutonzi mu bwa Taata Tonda ne Maama Namugereka.
- Kika ekyatta omukago nebika ebirala okola omuganda ogwavamu egwanga lya Buganda erikulemberwa obwakabaka obutudde mubwatonda era nga bwebuzawo obumu omuntu bweyayina nga tanaba kukolimirwa olwomwegeziwaza nava kunambiko omutonzi zeyabangiramu ensi eno ekuva olwo Omutonzi yawanga amawanga amalaala okuva mumuganda ogwasoka.
-Omusambwa omukulu mumbogo gwa Jaaja Bulamu nga yemulongo Kato omutonzi gweyakwasa okukulira emyoyo gwona mu bwa Jaaja Ssewamala wamu nomulongo wasswa Ndawula.