AMANYA GABAKONGOZI
- KAYIIRA Lino ly’abeddira Embogo nga lyava ku jjajjaabwe Kayanja eyayamba muzzukuluwe Makumbi okunoonya embazzi eyali emubuzeeko. Kayanja yayokya oluyiira ensiko eveewo basobole okulaba embazzi. Kuno kwe kwava okumuyita Kayiira eritegeeza omuntu ayokya empiira.
( Erinya lino abalitoma bakikola munsobi Kayiira ayina kuba omu mukika nga ye Jaaja Kayiira Owakasolya)
- Walakira
- Ntume(Liva muntumwa abangereze gweyitta angel Gabrial)
- KASIBANTE:
Erinnya lino liva ku muddo nagwo oguyitibwa Kasibante nga gulina emirandira emingi egiba gyetuumye awamu ne gikola akanywa ne ginywera mu ttaka nga kuno abantu kwe baava okulowooza nti osobola okugusibako ente.
Lituumibwa basajja abeddira Embogo. Ensibuko y’erinnya lino eri ku kyalo Nnyanzi mu Ssingo gye balina obutaka kye baava basalawo okutuuma batabani baabwe erinnya Nnyanzi.
- MAWEJJE
- MAGWEGA
- SENGOOBA
- MUKWAYA. Amannya gano ga bantu abeddira Embogo nga gava mu kigambo okwaya ekyakozesebwanga mu lulimi lw'entabaalo. Abatabaazi baabanga ne kye bayita okwaya emmere. Abasajja be baayitanga abaayi baatambulanga era bwe baasanga emmere yonna gye beetaaga nga tebasaba wabula nga bagikwata bukwasi ne basiba ne batwalira abatabaazi. Kuno kwe baayitanga okwaya nti emmere baayaayanga njaaye. Oyinza okugamba nti Mukwaya ne Namukwaya gategeeza abantu abanoonyeza abatabaazi emmere mu lutalo.
- MBOGO
- YAWE
- SEMITEGO
- KYEWAGUULA
- SENTAMU
- KYAGULANYI
- SSEBADUKA
- SEKAYIBA
- MAGEMBE
- KIRABIRA
- BUGEMBE
- KABANDA
- DUMBA
- LUTAKOME
- LWANYAGA
- SSEBANJA
- SENZIGO
- MUSIIGE
- BISASO
- SSEKANDI
- KASAMBA
- KAYANJA
- MAKUMBI Erinnya lino lya Bambogo nga lyatandikira ku Ssekabaka Kimera. Kimera bwe yali ajja okulya Obuganda, muzzukulu wa Kayiira ayitibwa Kipimpini ye yamwetikkira enkumbi kwe kumutuuma Makumbi eritegeeza omwetissi w’enkumbi.
- Ssenkabirwa
- LUZIGE
- KANAMWANGI
- LUGAGALI.
- MUWAFU.
- KISERO.
- BALEMEZI
- NTWATWA
- MUWAYA
- LUPERE
- NGALOMYEMBE
- MUDODOBI
- ZIBURAKO
- SSENDIKWANAWA
- SSENKATUKA
Lituumibwa abasajja abeddira Embogo ng’erinnya baalyetuuma nga baliggya ku ngabo ya Kabaka eyitibwa Kaamaanyi, Abembogo gye bakwata. Noolwekyo Kaamaanyi oyinza okumuyita engabo ya Kabaka.
-